+256 790 912 333
admin@radiobasket.com

Luganda – Petition 16 Ruling

Paliyamenti Yaffe
Paliyamenti Yaffe
Luganda - Petition 16 Ruling
Loading
/

Mu mwezi gwe 11/2011, ekitongole ky’obwannakyewa ekimanyiddwa nga: Center for Health, Human Rights and Development (CEHURD) nga kiri wamu n’abantu abalala, baawaaba omusango mu kkooti ya Ssemateeka, ng’ekimu ku byo baagala kkooti esalewo: “ng’ekya Government obutassa bikozesebwa mu malwaliro ga Government, ne kiviirako abakyala okufiira mu ssanya, kubeera kutyoboola ddembe lya bakyala. Mu musango guno, era baali baagala Government eriyirire abooluganda lw’abakyala abaafa nga bazaala. Oluvannyuma lw’emyaka 9, kkooti yakkirizza nti: ekya Government okulemererwa okussa mu malwaliro ebikozesebwa abakyala mu kuzaala, kuba kutyoboola Ssemateeka, okulinnyirira abakyala, n’okubalengezza. Kkooti y’emu yalagidde Government eriyirire abooluganda lwa family 2 ezafiirwa ababakyala babiri nga bazaala mu ddwaaliro lye Mityana – Sylvia Nalubowa ne Anguko Jennifer eyafiira mu ddwaaliro lye Arua, obukadde bw’ensimbi ezisoba mu 308. Tusobola tutya okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafa nga bazito, mu kuzaala oba abo abafiira mu nnaku 42 nga baakamala okuzaala? Eno ye program Our Parliament giyite Parliament yaffe. Program eno eruubirira okumanyisa omuntu wa bulijjo ebigenda mu maaso mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu.

Share this

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Related Post