+256 790 912 333
admin@radiobasket.com

Luganda- UCC New guidelines.

Radio Basket
Radio Basket
Luganda- UCC New guidelines.
/

Ekitongole ekimanyiddwa nga: Uganda Communications Commission, kitongole kya Government, ng’obuyinza bwakyo kibusimbuliza mu nnyingo 5, mu tteeka erirambika ebiweerezebwa ku mpewo, erya 2013. Mu bino mulimu; okulondoola, okulabirira, okuwa olukusa, okulungamya, n’okulambika empeereza y’ebyempuliziganya mu Uganda. Mu mbeera eno, ekitongole kino, kyafulumya ebiragiro ebiggya ku mitendera Radio bye zigoberera okufuna olukusa, nga wano Radio zonna zaalagibwa okuddamu okusaba okufuna license zezaagala. Enkola eno empya, ewa license ya myaka 5 okuva ku mwaka gumu ogubadde guziweebwa. Emyaka gyonna, enteekateeka ebaddewo ebadde yeemulugunyizibwako olw’obutatuukana na ttekinologiya aliwo omuggya, omuli n’ebiweerezebwa ku mpewo. Kino kiba kitegeeza ki, nga tusemberera okulonda kwa bonna okwa 2020/21 okugenda okubeeramu okunoonya obululu nga tukozesa radio ne Tv? Eno ye program Our Parliament giyite Parliament yaffe. Program eno eruubirira okumanyisa omuntu wa bulijjo ebigenda mu maaso mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu.

Share this

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Related Post